bnny 20 Mak 16:11
c Yk 14:27 nny 21
dnny 25; Luk 24:40

John 20:24-28

Yesu Alabikira Tomasi

24 aNaye Tomasi, omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri, ayitibwa Didumo, teyali na banne Yesu bwe yajja. 25 bBayigirizwa banne ne bamugamba nti, “Tulabye Mukama waffe.”

Ye n’abagamba nti, “Okuggyako nga ndabye enkovu ez’emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.”

26 cBwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu, era bali mu nnyumba, Tomasi yali nabo. Yesu n’ajja, enzigi nga nsibe, n’ayimirira wakati mu bo n’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe,” 27 dAwo n’agamba Tomasi nti, “Kale teeka engalo zo wano, laba ebibatu byange. Teeka ekibatu kyo mu mbiriizi zange. Lekeraawo okuba atakkiriza, naye kkiriza.”

28Tomasi n’amuddamu nti, “Ggwe Mukama wange era Katonda wange.”

Copyright information for LugEEEE